1 Samuel 17:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafilisitiini ne bakunga amagye gaabwe balwane, ne bakuŋŋaanira e Soko mu Yuda. Ne basiisira e Efesi-Dammimu wakati wa Soko ne Azeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe e Soko ekya Yuda okulwana. Ne basiisira mu Efusudammimu ekiri wakati wa Soko ne Azeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya eggye lyabwe okulwana, ne bakuŋŋaanira e Soko ekya Yuda, ne basiisira wakati w'e Soko ne Azeka mu Efusudammimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abafilistiya ne bakuŋŋaanya amagye gaabwe okulwana, ne bakuŋŋaanira e Soko eky'omu Buyudaaya. Ne basiisira mu Efesidammimu wakati wa Soko ne Azeka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya eggye lyabwe okulwana, ne bakuŋŋaanira e Soko ekya Yuda, ne basiisira wakati w'e Soko ne Azeka mu Efusudammimu.