1 Samuel 17:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani be basatu baali bagoberedde Sawulo mu lutalo. Amannya g'abatabani be abasatu abaali bagenze mu lutalo nga ge Eliyabu omuggulanda, Abinadabu amuddako, ne Samma owookusatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yese yalina abaana munaana aboobulenzi, era mu biro ebyo ebya Sawulo yali akaddiye nnyo. Batabani ba Yese abakulu abasatu baali bagenze ne Sawulo mu lutalo. Omukulu ye yali Eriyaabu, owookubiri nga ye Abinadaabu, n’owookusatu nga ye Samma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Yese abakulu abasatu (3) baali bagenze ne Sawulo mu lutalo; amannya gaabwe ge gano, Omubereberye Eriyaabu, Ow'okubiri Abinadaabu, n'ow'okusatu Samma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani be abasatu abasinga obukulu, amannya gaabwe: Eliyaabu omuggulanda, n'amuddako Abinadabu, n'owookusatu Samma, baali bagenze ne Sawulo mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Yese abakulu abasatu baali bagoberedde Sawulo mu ntalo: ne batabani be abasatu abaagenda mu ntalo amannya gaabwe Eriyaabu omubereberye, n'eyamuddako Abinadaabu, n'ow'okusatu Samma.