1 Samuel 17:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ye Dawudi yagendanga ewa Sawulo n'adda; yaddanga alunde eggana lya kitaawe e Beteleemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye Dawudi n’addiŋŋananga ng’ava mu kulunda endiga za kitaawe e Besirekemu, ng’agenda ewa Sawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Dawudi yaweerezanga Sawulo nga bwadda n'ekka okulunda endiga za kitaawe e Besirekemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Dawudi yagendanga eri Sawulo, ate n'akomawo e Betilehemu okulunda endiga za kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Dawudi n'addiŋŋananga okuva eri Sawulo okulunda endiga za kitaawe e Besirekemu.