1 Samuel 17:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ebitole bino ebya bbongo bitwalire omugabe w'ekibinja kyabwe eky'olukumi. Genda olabe ku baganda bo nga bwe bali, bakuwe n'obukakafu obuleete.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate ne bino ebitole ekkumi eby’amata (kiizi ) bitwalire omuduumizi w’ekibinja kyabwe. Olabe baganda bo nga bwe bali okomyewo obubaka obunaatugumya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
twalira omuduumizi we kibinja kyabwe eky'olukumi (1,000) ebitole bino kkumi (10) eby'amata amakalu, olabe baganda bo bwe bali, era obaggyeko ne kintu kyonna ekinankakasa nga obalabye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'omuduumizi omutwalire ebitole bino ekkumi eby'omuzigo omukwafu. Olabe baganda bo bwe bali, era obaggyeko n'ekintu ky'onooleeta okunkakasa nti obalabye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
otwalire omukulu w'olukumi lwabwe ebitole bino ekkumi eby'amata amakalu, olabe baganda bo bwe bali, obaggyeko omusingo gwabwe.