1 Samuel 17:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'asituka ku makya, eggana n'alirekera omusumba, n'atikka emigugu gye, n'agenda nga Yesse bwe yali amulagidde. Yatuuka ku lusiisira ng'eggye lyetegekera okulwana, nga bakuba enduulu z'olutalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkeera Dawudi n’agolokoka mu makya nnyo, endiga n’azirekera omusumba, n’ateekateeka ebintu bye yali atwala, n’agenda nga Yese bwe yamulagira. We yatuukira mu lusiisira, ng’eggye ligenda mu ddwaniro nga lirangirira olutalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enkeera, Dawudi n'agolokoka mu makya, endiga n'azirekera omusumba, n'atwala ebintu nga Yese bwe yamulagira; n'atuuka mu kifo eky'amagaali, eggye lyali lifuluma okulwana era nga bayimba ennyimba z'entalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera, Dawudi n'agolokoka mu makya, endiga n'azirekera omuntu ow'okuzirabirira, n'atwala emmere, nga Yesse bwe yamulagira. N'atuuka mu lusiisira, era n'asanga eggye eryali lifuluma okugenda okulwana, nga baleekaana mu maloboozi ag'entalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agolokoka enkya mu makya, n'alekera endiga omusumba n'addira ebintu n'agenda nga Yese bwe yamulagira; n'atuuka mu kifo eky'amagaali, eggye eryali lifuluma okulwana nga balanga emiruka egy'obulwa.