1 Samuel 17:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'aleka awo bye yali aleese ng'abikwasizza omukuumi w'emigugu, n'addukanako mu ddwaniro n'abuuza ku baganda be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’alekera omukuumi w’ebikozesebwa ebintu bye, n’adduka n’agenda eri eggye, n’alamusa ku baganda be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'aleka omugugu gwe mu mukono gw'omukuumi w'emigugu, n'adduka mbiro eri eggye n'ajja n'alamusa baganda be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi ebintu bye n'abirekera omukuumi w'etterekero, n'adduka okutuuka mu ggye, n'agenda n'alamusa baganda be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'aleka omugugu gwe mu mukono gw'omukuumi w'emigugu, n'adduka mbiro eri eggye n'ajja n'alamusa baganda be.