1 Samuel 17:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aba akyayogera nabo, omusajja omutabaazi Omufilisitiini, gwe bayita Goliyati Omugitti n'avaayo mu nnyiriri ze, n'ayogera ebyo bye yayogeranga. Dawudi n'amuwulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yali ng’aky’anyumya nabo, Goliyaasi, Omufirisuuti omuzira ow’e Gaasi, ne yeesowolayo okuva mu ggye ly’Abafirisuuti n’asoomooza Abayisirayiri mu bigambo bye bimu bye yayogeranga. Dawudi n’amuwulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yali anyumya nabo, Goliyaasi omuzira Omufirisuuti ow'e Gaasi, naava mu nnyiriri z'Abafirisuuti n'ayogera ebigambo ebisomoza eggye lya Isiraeri, Dawudi n'abiwulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yali ng'ayogera nabo, omusajja oyo omuzira, Omufilistiya ow'e Gaati, erinnya lye Goliyaati, ne yeesowolayo mu ggye ly'Abafilistiya, n'ayogera nga bwe yali amanyidde okwogera. Dawudi n'abiwulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yali anyumya nabo, laba, ne wayambuka oyo omuzira, Omufirisuuti ow'e Gaasi, erinnya lye Goliyaasi, ng'ava mu nnyiriri ez'Abafirisuuti n'ayogera ng'ebigambo ebyo bwe byali: Dawudi n'abiwulira.