1 Samuel 17:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne bagamba nti: “Olabye omusajja oyo avaayo? Ajja kusoomoza Yisirayeli. Omuntu alimutta kabaka agenda kumugaggawaza n'obutitimbe bw'ebintu; alimuwa ne muwala we abeere mukazi we, n'ennyumba ya kitaawe aligisonyiwa omusolo mu Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagamba nti, “Mulaba omusajja oyo avuddeyo? Mazima, azze okusoomooza Isirayiri. Omuntu alimutta, kabaka alimugaggawaza era alimuwa muwala we okumuwasa, era n’ennyumba ya kitaawe eneebanga ya ddembe mu Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja Abaisiraeri ne bagamba nti, “Mulabye omusajja oyo eyesowoddeyo? Mazima asomozezza nnyo Isiraeri; naye omuntu yenna anaamutta, kabaka ajja kumuwa obugagga bungi, amuwe ne muwala we amuwase ne nnyumba ya kitaawe agifuule ya ddembe mu Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja Abayisirayeli ne bagamba nti: “Mulabye omusajja oyo eyeesowoddeyo? Ddala yeesowoddeyo kusoomooza Yisirayeli. Omuntu anaamutta, kabaka ajja kumuwa obugagga bungi era ajja kumuwa ne muwala we amuwase. N'ab'ennyumba ya kitaawe ajja kubafuula ba ddembe mu Yisirayeli”.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ba Isiraeri ne boogera nti Mulabye omusajja oyo ayambuse? mazima okusoomoza Isiraeri kyavudde ayambuka: awo olunaatuuka omuntu anaamutta kabaka anaamugaggawaza n'obugagga bungi, era anaamuwa ne muwala we, era anaafuula ennyumba ya kitaawe okuba ey'eddembe mu Isiraeri.