1 Samuel 17:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi, abasajja abaali bayimiridde naye n'ababuuza nti: “Omusajja alitta Omufilisitiini ono n'aggyawo okuswala mu Yisirayeli aliweebwa ki? Ani ono Omufilisitiini atali mutayirire asoomooza eggye lya Katonda omulamu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’abuuza abasajja abaali bamuyimiridde okumpi nti, “Kiki ekirikolerwa omuntu alitta Omufirisuuti oyo, n’aggya obuswavu buno ku Isirayiri? Omufirisuuti oyo atali mukomole yeeyita ani okusoomooza eggye lya Katonda omulamu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'abuuza abasajja abaali bamuyimiridde okumpi nti, “Omuntu anatta Omufirisuuti ono, n'aggya ekivume ku Isiraeri anaakolebwa atya? Kubanga Omufirisuuti ono atali mukomole ye ani okusoomooza eggye lya Katonda omulamu?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'abuuza abasajja abaali bayimiridde okumpi naye nti: “Omuntu anatta Omufilistiya ono, n'aggya ekivume ku Yisirayeli, anaakolerwa ki? Ye Omufilistiya ono atali mukomole, ye ani, alyoke asoomooze eggye lya Katonda Nnannyinibulamu?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'ayogera n'abasajja abaali bayimiridde okumuliraana nti Omuntu anaakolwa atya anatta Omufirisuuti ono, n'aggya ekivume ku Isiraeri? kubanga Omufirisuuti ono atali mukomole ye ani asoomoze eggye lya Katonda omulamu?