1 Samuel 17:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne bamuddiramu bye baayogeranga, ne bamugamba nti: “Bino na bino bye biriweebwa omusajja aliba amusse.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddiramu ebigambo bye bimu nti, “Bw’atyo bw’anaakolebwa omuntu anaamutta.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne bamuddamu bwe bati nga boogera nti, “Bw'atyo bw'anaakolwa omuntu anaamutta.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne bamuddamu mu bigambo biri, nga bagamba nti: “Omuntu anaamutta, ajja kuweebwa ebyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne bamuddamu bwe bati nga boogera nti Bw'atyo bw'anaakolwa omuntu anaamutta.