1 Samuel 17:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliyabu muganda wa Dawudi omukulu bwe yawulira ng'ayogera n'abasajja, obusungu bwe ne bweserera Dawudi, n'amugamba nti: “Lwaki wazze? Endiga entono ezo ozirekedde ani mu ddungu? Mmanyi olwetumbu lwo, n'obwonoonefu bw'omutima gwo; wazze kutunuulira lutalo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eriyaabu, muganda wa Dawudi mukulu waabwe bwe yamuwulira ng’ayogera n’abasajja, obusungu ne bumukwata, n’amubuuza nti, “Kiki ekyakuleese wano? Ani gwe walekedde endiga ezo entono ku ttale? Mmanyi amalala go n’ekyejo ky’olina mu mutima, waserengese kulaba bulabi lutalo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriyaabu muganda we omukulu n'awulira ebigambo Dawudi byeyayogera n'abasajja; Eriyaabu n'asunguwalira Dawudi n'amubuuza nti, “Lwaki ozze wano? Endiga zo entono ozirekedde ani ku ttale? Mmanyi amalala go, n'obubi obuli mu mutima gwo, ozze kulaba lutalo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mukulu we Eliyaabu, n'amuwulira ng'ayogera n'abasajja. Eliyaabu n'asunguwalira Dawudi era n'amubuuza nti: “Ozze kukola ki wano? Era endiga ezo ento wazirekedde ani ku ttale? Mmanyi okwepanka kwo, ggwe kalikyejo! Ekikuleese si kirala, wabula okulaba olutalo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Eriyaabu muganda we omukulu n'awulira bwe yayogera n'abasajja; obusungu ne bumukwata Eriyaabu eri Dawudi, n'ayogera nti Oserengetedde ki? n'endiga ezo entono wazirekera ani ku ttale? Mmanyi amalala go n'ekyejo ekiri mu mutima gwo, kubanga oserengese okulaba olutalo.