1 Samuel 17:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'akyuka, n'amuvaako, n'atunuulira omulala, n'amubuuza ekibuuzo kye kimu; abantu ne bamwanukula nga mu kusooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akyuka n’abuuza omuntu omulala ekibuuzo kye kimu, mu ngeri y’emu abasajja ne bamutegeeza ebigambo bye bimu nga bali abaasoose.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amulekawo n'akyukira omulala n'amubuuza ebigambo bye bimu nga bwe yabuuza olubereberye; abantu ne bamuddamu ebigambo bye bimu nga olubereberye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amuvaako n'akyukira omulala n'amubuuza ekibuuzo kye kimu kiri. Abantu era ne bamuddamu nga bwe baamuzzeemu olubereberye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amuvaako n'akyukira omulala n'ayogera ebigambo ebimu n'ebyo: abantu ne bamuddamu nate bwe batyo nga bwe baamuzzeemu olubereberye.