1 Samuel 17:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Sawulo nti: “Wabulewo aggwaamu omutima olw'Omufilisitiini oyo. Nze omuweereza wo nzija kugenda nnwane n'Omufilisitiini oyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Waleme kubaawo muntu n’omu aggwaamu mwoyo olw’Omufirisuuti oyo. Omuweereza wo anaagenda n’amulwanyisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba Sawulo nti, “Omuntu yenna aleme okuggwaamu omwoyo ku lwo Mufirisuuti oyo; omuddu wo ajja kugenda alwane naye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Sawulo nti: “Waleme kubaawo n'omu aggwaamu omwoyo olw'Omufilistiya oyo. Nze omuweereza wo, nja kugenda mmulwanyise.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Sawulo nti Omuntu yenna aleme akuggwaamu omwoyo ku lulwe; omuddu wo anaagenda n'alwana n'Omufirisuuti oyo.