1 Samuel 17:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Tosobola kwambalagana na Mufilisitiini oyo, oli mwana bwana; naye oyo omusajja abadde alwana okuva mu buvubuka bwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’amuddamu nti, “Toyinza kugenda kulwana na Mufirisuuti oyo; kubanga oli mulenzi bulenzi, songa ye abadde mulwanyi okuva mu buvubuka bwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'agamba Dawudi nti, “Toyinza kwaŋŋaanga kulwana na Mufirisuuti oyo; kubanga ggwe oli mulenzi bulenzi, naye ye musajja mulwanyi okuva mu buto bwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Toyinza kwolekera Mufilistiya oyo kumulwanyisa! Ggwe oli mulenzi bulenzi, ate ye musajja mulwanyi okuva mu buto bwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'agamba Dawudi nti Toyinza kusisinkana na Mufirisuuti oyo okulwana naye: kubanga ggwe oli mulenzi bulenzi, naye ye musajja mulwanyi okuva mu buto bwe;