1 Samuel 17:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Sawulo nti: “Omuweereza wo bwe yabanga alunda eggana lya kitaawe, empologoma emala ejja, oba eddubu, okutwala endiga okuva mu ggana,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Dawudi n’addamu Sawulo nti, “Omuweereza wo amaze ebbanga ng’alunda endiga za kitaawe, era bwe waabangawo empologoma oba eddubu eyajjanga n’etwala omwana gw’endiga okuva mu kisibo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba Sawulo nti, “Omuddu wo yalunda endiga za kitaawe; awo bwe wajjanga empologoma oba ddubu n'eggya omwana gw'endiga mu kisibo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Sawulo nti: “Nze omuweereza wo, mbadde nnunda endiga za kitange, ng'empologoma oba eddubu bw'ejja n'enyaga omwana gw'endiga mu kisibo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Sawulo nti Omuddu wo yakuumanga endiga za kitaawe; awo bwe wajjanga empologoma oba ddubu n'eggya omwana gw'endiga mu kisibo,