1 Samuel 17:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga ngiwondera, nga ngikuba, nga ngisuuza endiga okuva mu kamwa kaayo; bwe yasitukanga okunnumba, nga ngikwata egginirizi, nga ngikuba, nga ngitta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nagigobereranga, ne ngikuba, ne mponya omwana gw’endiga nga nguggya mu kamwa k’ensolo eyo. Bwe yankyukiranga n’eyagala okunzita, nga ngikwata oluba ne ngikuba ne ngitta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga nfuluma nga ngigoberera nga ngikuba nga ngigusuuza; awo bwe yangolokokerangako ne ngikwata mu malaka ne ngitta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga ŋŋenda ne ngiwondera, ne ngirwanyisa ne ngigusuuza. Era nga bw'esituka okunnwanyisa, ngikwata mu malaka, ne ngikuba ne ngitta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne nfulumanga ne ngigoberera ne ngikuba ne ngiwonya nga ngiggya mu kamwa kaayo: awo bwe yangolokokerangako ne ngikwata ku kirevu kyayo ne ngikuba ne ngitta.