1 Samuel 17:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi era n'agamba nti: “Omukama eyamponya mu mikono gy'empologoma ne mu mikono gy'eddubu, yennyini y'anamponya ne mu mikono gy'Omufilisitiini.” Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Genda; Omukama abeere naawe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’ayogera nti, “ Mukama eyamponya enjala z’empologoma n’enjala z’eddubu, alimponya ne mu mukono gw’Omufirisuuti oyo.” Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Genda, era Mukama abeere naawe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Dawudi n'agamba nti, “Mukama eyamponya mu njala z'empologoma ne mu njala z'eddubu, alimponya ne mu mukono gw'Omufirisuuti oyo.” Sawulo n'agamba Dawudi nti, “Genda, era Mukama abeere naawe!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba nti: “Mukama eyamponya amaala g'empologoma n'ag'eddubu, anamponya anzigye mu mikono gy'Omufilistiya oyo.” Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Kale genda, Mukama abeere naawe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'ayogera nti Mukama eyamponya mu njala z'empologoma ne mu njala z'eddubu, alunponya ne mu mukono gw'Omufirisuuti oyo. Sawulo n'agamba Dawudi nti Genda, era Mukama anaaba naawe.