1 Samuel 17:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'asiba ekitala ku kkanzu ye, n'asooka okugezaamu okutambula; kubanga yali tamanyidde. N'agamba Sawulo nti: “Sisobola kutambula nga ndi mu bino, kubanga simanyidde.” Naabiggyamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku kyambalo, n’agezaako okutambula, naye n’alemererwa, kubanga yali tabimanyidde. Awo n’agamba Sawulo nti, “Siisobole kugenda na bino kubanga sibimanyidde.” N’abyeyambulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku byambalo ebyo, n'agezaako okutambula, naye n'atasobola, kubanga yali tabimanyidde. N'agamba Saulo nti, “Sisobola kugendanga nnyambadde bino, kubanga sibimanyidde.” Dawudi n'abyeyambulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku byambalo ebyo, n'agezaako okutambula, naye n'atasobola, kubanga yali tabimanyidde. N'agamba Sawulo nti: “Sisobola kugenda nga nnyambadde bino, kubanga sibimanyidde.” Dawudi n'abyeyambulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi ne yeesiba ekitala kye ku byambalo bye, n'agezaako okutambula; kubanga yali tannaba kubyegezaamu. Awo Dawudi n'agamba Sawulo nti Siyinza kugenda na bino; kubanga sinnabyegezaamu. Dawudi n'abyeyambulamu.