1 Samuel 17:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'akwata omuggo gwe mu mukono, n'alonda obuyinja butaano mu kiwonvu obwewunda obulungi, n'abussa mu kasawo akaabeeranga mu nsawo ye gye yalundanga nayo, n'akwata envuumuulo ye mu ngalo, n'asemberera Omufilisitiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akwata omuggo mu mukono gwe, n’alonda n’amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n’agateeka mu nsawo ye ey’omusumba. N’addira n’envuumuulo ye mu mukono gwe n’asemberera Omufirisuuti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akwata omuggo gwe, ne yeerondera amayinja amaweweevu ataano (5) mu kagga, n'agateeka mu nsawo ye ey'omusumba gye yalina, n'akwata envuumuulo ye; n'asemberera Omufirisuuti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akwata omuggo gwe, n'alonda mu kagga amayinja ataano ameekulungirivu, n'agateeka mu kasawo ke, mu nsawo ey'omusumba gye yalina, nga n'envuumuulo ye agikutte, n'asemberera Omufilistiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addira omuggo gwe mu mukono gwe, ne yeerondera amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n'agateeka mu nsawo ey'omusumba gye yalina, mu ndyanga ye; n'envuumuulo ye yali mu mukono gwe: n'asemberera Omufirisuuti.