1 Samuel 17:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omufilisitiini n'atunuulira Dawudi okuva ku mutwe okutuuka ku bigere, n'amugaya, kubanga yali mulenzi bulenzi, nga mumyufu, mulungi okulaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omufirisuuti n’atunuulira Dawudi n’amunyooma kubanga yali mulenzi bulenzi, ng’alabika bulungi ate n’amaaso ge nga malungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Omufirisuuti bwe yalaba Dawudi, n'amunyooma; kubanga yali mulenzirenzi, mumyufu amaaso ge nga malungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omufilistiya bwe yatunula n'alaba Dawudi, n'amunyooma, kubanga kaali kalenzi kato, akamyufu era akalungi mu ndabika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Omufirisuuti bwe yamagamaga n'alaba Dawudi, n'amunyooma: kubanga nga yali mulenzirenzi, era mumyufu, n'amaaso ge nga malungi.