1 Samuel 17:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Omufilisitiini nti: “Ggwe ojja gye ndi n'ekitala, n'effumu, n'akajogolo; naye nze nzija gy'oli mu linnya ly'Omukama w'Amagye, Katonda w'Amagye ga Yisirayeli gw'onyoomoola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Dawudi n’agamba Omufirisuuti nti, “Ojja gye ndi n’ekitala n’effumu, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomooza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agamba Omufirisuuti nti, “Ojja gye ndi n'ekitala n'olunyago n'effumu; naye nze njija gy'oli mu linnya lya Mukama ow'eggye, Katonda w'eggye lya Isiraeri, ly'osoomozezza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Omufilistiya nti: “Ojja gye ndi ng'olina ekitala, n'effumu, n'olunyago; naye nze nzija gy'oli mu linnya lya Mukama Nnannyinimagye, era Katonda w'eggye lya Yisirayeli, ly'osoomoozezza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba Omufirisuuti nti Ojja gye ndi n'ekitala n'olunyago n'effuniu: naye nze njija gy'oli mu linnya lya Mukama ow'eggye, Katonda w'eggye lya Isiraeri, ly'osoomozezza: