1 Samuel 17:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwa leero Katonda ajja kukumpa mu mikono gyange; nzija kukutta nkutemeko omutwe; olwa leero emirambo gy'eggye ly'Abafilisitiini nzija kugigabula ebinyonyi eby'omu bbanga n'ebisolo by'ensi; ensi yonna eryoke etegeere nti Katonda ali mu Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwa leero Mukama anaakuwaayo mu mukono gwange, ne nkukuba era ne nkusalako omutwe. Olwa leero nnaagabira emirambo egy’eggye ery’Abafirisuuti eri ebinyonyi eby’omu bbanga n’eri ensolo enkambwe ez’ensi, ensi yonna eryoke etegeere nga waliwo Katonda mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Leero Mukama anaakugabula mu mukono gwange; era naakukuba ne nkutemako omutwe gwo; era n'agabira ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko emirambo egy'eggye ery'Abafirisuuti; ensi zonna zitegeere nga mu Isiraeri mulimu Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwaleero Mukama ajja kukuwaayo gye ndi nkukube wansi nkutemeko omutwe. Era olwaleero ebinyonyi eby'omu bbanga, n'ebisolo eby'omu ttale nja kubigabula emirambo gy'ab'eggye ly'Abafilistiya, ensi yonna emanye nga mu Yisirayeli mulimu Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Leero Mukama anaakugabula mu mukono gwange; era naakukuba ne nkuggyako omutwe gwo; era naagabira ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko emirambo egy'eggye ery'Abafirisuuti; ensi zonna zitegeere nga mulimu Katonda mu Isiraeri: