1 Samuel 17:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abantu bonna abali wano bamanye nti Omukama talokola na kitala na ffumu, kubanga olutalo lulwe; ajja kubatuwa mu mikono gyaffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna abakuŋŋaanye wano banaategeera nga Mukama talokola na kitala wadde effumu, kubanga olutalo, lwa Mukama era mwenna agenda kubawaayo mu mukono gwaffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ekibiina kino kyonna kitegeere nga Mukama talokola na kitala na ffumu; kubanga olutalo lwa Mukama, naye anaabagabula mu mukono gwaffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ekibiina kino kyonna kijja kutegeera nti Mukama abantu be tabanunuza kitala na ffumu, kubanga Mukama ye anaawangula olutalo, era ajja kubawaayo mmwe mu mikono gyaffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ekibiina kino kyonna kitegeere nga Mukama talokola na kitala na ffumu: kubanga olutalo lwa Mukama, naye anaabagabula mu mukono gwaffe.