1 Samuel 17:50 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'awangula Omufilisitiini nga yeeyamba envuumuulo n'ejjinja; yakuba Omufilisitiini n'amutta. Dawudi teyalina kitala mu mikono gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Dawudi n’awangula Omufirisuuti n’envuumuulo n’ejjinja, n’amukuba n’amutta nga Dawudi talina kitala ky’akutte.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'awangula bw'atyo Omufirisuuti n'envuumuulo n'ejjinja n'amutta; nga talina kitala mu mukono gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Dawudi n'awangula Omufilistiya n'amutta n'envuumuulo n'ejjinja, nga Dawudi talina kitala mu ngalo ze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'awangula bw'atyo Omufirisuuti n'envuumuulo n'ejjinja, n'akuba Omufirisuuti n'amutta; naye nga temuli kitala mu mukono gwa Dawudi.