1 Samuel 17:51 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaddukanako mangu n'ayimirira ku Mufilisitiini, n'asowola ekitala kye, n'akiggya mu kiraato kyakyo, n'amutta, n'amutemako omutwe. Abafilisitiini bwe baalaba omuzira waabwe ng'afudde, ne badduka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi bwe yamala okutta Omufirisuuti, n’adduka n’amuyimirirako, n’asowola ekitala ky’Omufiisuuti okuva mu kiraato kyakyo, n’amutemako omutwe nakyo. Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ng’afudde ne badduka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'adduka mbiro n'ayimirira ku Mufirisuuti, n'asowola ekitala ky'Omufirisuuti mu kiraato kyakyo, n'amutta n'amutemako omutwe nakyo. Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ng'afudde ne badduka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'adduka, n'agenda ayimirira ku Mufilistiya, n'asowolayo ekitala ky'Omufilistiya mu kiraato kyakyo, n'amutemako omutwe, ng'amaze okumutta. Abafilistiya bwe baalaba ng'omuzira waabwe afudde, ne badduka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'adduka mbiro n'ayimirira ku Mufirisuuti, n'addira ekitala kye n'akisowola mu kiraato kyakyo, n'amutta n'amutemako omutwe nakyo. Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ng'afudde ne badduka.