1 Samuel 17:52 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ba Yisirayeli ne Yuda ne basitukiramu, ne bakuba enduulu, ne bawondera Abafilisitiini okubatuusiza ddala ku wankaaki wa Gati ne ku mulyango gwa Ekuroni. Abattibwa mu Bafilisitiini ne bagenda nga bagwa mu kkubo okuva e Saarayimu okutuuka e Gati n'e Ekuroni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja ba Isirayiri ne Yuda ne bagolokoka n’okuleekaana okungi ne bagoberera Abafirisuuti okutuuka e Gaasi ne ku miryango gya Ekuloni; abaafa n’abaatuusibwako ebiwundu ne baba bangi mu kkubo okuva e Saalayimu okutuuka e Gaasi n’e Ekuloni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja ba Isiraeri n'aba Yuda ne bagolokoka ne balekana ne bawondera Abafirisuuti okutuusa e Gaayi ne ku miryango gya Ekuloni, n'Abafirisuuti abaafumitibwa ebiwundu ne bagwa ku kkubo eridda e Saalayimu, okutuusa e Gaasi ne Ekuloni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya ne basituka, ne baleekaana, ne bawondera Abafilistiya okutuuka mu kiwonvu, ne ku nzigi z'e Ekurooni. Abafilistiya abaafumitibwa ebiwundu mu lutalo olwo, ne bagwa mu kkubo eridda e Sarayiimu okutuuka e Gaati ne Ekurooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja ba Isiraeri n'aba Yuda ne bagolokoka ne boogerera waggulu ne bagoberera Abafirisuuti okutuusa lw'otuuka e Gaayi ne ku miryango gya Ekuloni. N'Abafirisuuti abaafumitibwa ebiwundu ne bagwa ku kkubo eridda e Saalayimu, okutuusa e Gaasi ne Ekuloni.