1 Samuel 17:55 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Luli Sawulo lwe yalaba Dawudi ng'afuluma okulumba Omufilisitiini, yagamba Abuneri omukulu w'amagye nti: “Abuneri, omuvubuka oyo mutabani w'ani?” Abuneri n'amugamba nti: “Ssebo Kabaka, mazima ggwe ng'oli mulamu, simanyi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo bwe yalengera Dawudi ng’agenda okulwana n’Omufirisuuti, n’abuuza Abuneeri omuduumizi w’eggye nti, “Abuneeri, oyo omuvubuka mutabani w’ani?” Abuneeri n’amuddamu nti, “Nga bw’oli omulamu, ayi kabaka, simanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Sawulo bwe yalaba Dawudi ng'afuluma okulwana n'Omufirisuuti, n'abuuza Abuneeri omukulu w'eggye nti, “Omulenzi oyo mwana w'ani?” Abuneeri n'addamu nti, “Nga ggwe bw'oli omulamu, ayi kabaka, simanyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo bwe yalaba Dawudi nga yeesowoddeyo okulwanyisa Omufilistiya, n'abuuza Abuneeri omuduumizi w'eggye nti: “Abuneeri, omulenzi ono mutabani w'ani?” Abuneeri n'addamu nti: “Ndayira mu maaso go, ayi kabaka, simanyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Sawulo bwe yalaba Dawudi ng'afuluma okulwana n'Omufirisuuti, n'agamba Abuneeri, omukulu w'eggye, nti Abuneeri, omulenzi ono ye mwana w'ani? Abuneeri n'ayogera nti Nga ggwe bw'oli omulamu, ai kabaka, simanyi.