1 Samuel 17:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'anampangula n'anzita, tunaafuuka baweereza bammwe; bwe nnaamuwangula ne mmutta, mujja kufuuka baweereza baffe mutuweereze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’anannwanyisa n’anzita, kale tunaafuuka baddu bammwe, naye bwe nnaamuwangula ne mutta, munaafuuka baddu baffe era munaatuweerezanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'analwana nange n'anzita, kale tunaaba baddu bammwe; naye nze bwe nnamutta, mmwe munaaba abaddu baffe ne mutuweereza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'anaayinza okunnwanyisa n'anzita, olwo tunaabeera baddu bammwe; naye bwe nnaamuwangula ne mmutta, olwo mmwe munaabeera abaddu baffe okutuweerezanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'anaayinza okulwana nange n'anzita, kale tunaaba baddu bammwe: naye bwe nnaamusinga ne mmutta, kale mmwe munaaba baddu baffe ne mutuweereza.