1 Samuel 18:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, omutima gwa Yonatani ne gusigala ku Dawudi, Yonatani n'amwagala nga bwe yeeyagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, Yonasaani n’aba bumu ne Dawudi, era n’amwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, emmeeme ya Yonasaani n'egattibwa n'emmeeme ya Dawudi, Yonasaani n'amwagala nnyo nga bwe yeeyagala yekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, omutima gwa Yonataani ne gwegattira ddala n'ogwa Dawudi, Yonataani, n'amwagala nga bwe yeeyagala yennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yamala okwogera ne Sawulo, emmeeme ya Yonasaani n'egattibwa n'emmeeme ya Dawudi, Yonasaani n'amwagala ng'emmeeme ye ye.