1 Samuel 18:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera, omwoyo omubi ogwa Katonda ne gujja ku Sawulo, n'alogojjanira mu nnyumba; Dawudi yali asuna ennanga nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yalina effumu mu ngalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku olwaddirira omwoyo omubi okuva eri Katonda ne gujja ku Sawulo n’amaanyi mangi, n’ayogera eby’obunnabbi mu lubiri lwe, Dawudi nga bw’akuba entongooli nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yalina effumu mu ngalo ze,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunnaku olwaddirira omuzimu omubi ogwava eri Katonda ne gujja ku Sawulo n'amaanyi, n'ayogera ebya Katonda wakati mu nnyumba, Dawudi n'akuba ennanga nga bwe yakolanga bulijjo. Sawulo yalina effumu lye mu ngalo ze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwaddirira, omwoyo omubi ogwasindikibwa Katonda, ne gufubutukira ku Sawulo, n'alogojjanira mu nnyumba ye. Dawudi n'akuba ennanga nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yali akutte effumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka enkya omuzimu omubi ogwava eri Katonda ne gujja ku Sawulo n'amaanyi, n'alagulira wakati mu nnyumba: Dawudi n'akuba ennanga n'engalo ze nga bwe yakolanga buli lunaku: era Sawulo yalina effumu lye mu ngalo ze.