1 Samuel 18:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'akasuka ng'asuubira nti: “Nzija kutungira Dawudi ku kisenge.” Naye Dawudi n'amwemululako emirundi ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’alikasuka, ng’ayogera mu mutima gwe nti, “Kanfumite Dawudi mmukwasize ku kisenge.” Naye Dawudi n’alyewoma emirundi ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'akasuka effumu ng'ayogera nti, “Kanfumite Dawudi nkwase n'ekisenge.” Dawudi ne yeewoma amafumu ge emirundi ebiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba nti: “Ka nfumite Dawudi, nkwase n'ekisenge!” N'akasuukirira Dawudi effumu emirundi ebiri. Kyokka buli mulundi, Dawudi ne yeewoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'akasuka effumu; kubanga n'ayogera nti Naafumita Dawudi okukwasa n’ekisenge. Dawudi ne yeewomera mu maaso ge emirundi ebiri.