1 Samuel 18:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo kyeyava amweggyako, n'amuwa okukulira ekibinja eky'olukumi. Dawudi n'abakulemberanga mu ntabaalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo kyeyava aziyiza Dawudi okujja mu maaso ge n’amufuula omuduumizi ow’abasajja olukumi, era olw’omulimu ogwo ne yeeyongera okwatiikirira mu bantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo kyeyava amuggya w'ali n'amufuula omukulu w'olukumi (1,000), Dawudi n'abakulemberanga mu ntalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo kyeyava yeggyako Dawudi, n'amufuula omukulu w'abaserikale lukumi, Dawudi n'abakulemberanga mu ntalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo kyeyava amuggya w'ali n'amufuula omukulu we ow'olukumi: n'afulumanga n'ayingira mu maaso g'abantu.