1 Samuel 18:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Laba muwala wange omukulu Merabu wuuyo awo; nzija kumukuwa abeere mukazi wo, kasita onooba omuzira ku lwange, n'olwana entalo z'Omukama.” Muli munda Sawulo yali alowooza nti: “Nze sijja kumwettira, wabula Abafilisitiini be banaakikola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Nzija kukuwa muwala wange omukulu Merabu, abe mukyala wo, mpeereza n’obuvumu era lwana entalo za Mukama.” Sawulo n’ateesa mu mutima gwe nti, “Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okumukolako akabi. Ekyo Abafirisuuti be balikikola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti, “Muwala wange ono omukulu Merabu, nja kumukuwa omuwase, wabula obeerenga muzira olwanenga entalo za Mukama.” Kubanga Sawulo yayogera nti, “Omukono gwange guleme okumubaako, naye omukono gw'Abafirisuuti gumubeeko.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Muwala wange ono omukulu Merabu, nja kumukuwa omuwase, wabula njagala obeerenga muzira, olwanenga entalo za Mukama.” Sawulo yakola ekyo ng'agamba mu mutima gwe nti: “Nze ka nneme kumutta, naye Abafilistiya be baba bamutta.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti Laba, muwala wange omukulu Merabu ndikumuwa okumuwasa: kyokka ombeereranga omuzira olwanenga entalo za Mukama. Kubanga Sawulo yayogera nti Omukono gwange guleme okumubaako, naye omukono gw'Abafirisuuti gumubeeko.