1 Samuel 18:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye obudde bwe bwatuuka, Merabu muwala wa Sawulo lwe yali ow'okuweebwa Dawudi, ate yaweebwa Aduryeli Omumekola abeere mukazi we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekiseera bwe kyatuuka omuwala wa Sawulo Merabu okuweebwa Dawudi, ne bamuwa Aduliyeri Omumekolasi okumuwasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekiseera eky'okuwa Dawudi Merabu muwala wa Sawulo okumuwasa byekyatuuka naatamumuwa, wabula n'amuwa Adulieri Omumekolasi okumuwasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekiseera bwe kyatuuka Merabu muwala wa Sawulo okuweebwa Dawudi, ate omuwala oyo n'aweebwa Adriyeepi ow'e Mehola okuba mukazi we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye olwatuuka ebiro bwe byajja bwe kyagwanira okumuwa Dawudi Merabu muwala wa Sawulo, awo ne bamuwa Adulieri Omumekolasi okumufumbirwa.