1 Samuel 18:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati ate Mikali muwala wa Sawulo yayagala Dawudi; ne babuulira Sawulo, naye ne kimusanyusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo muwala wa Sawulo omulala Mikali yali ayagala Dawudi, era Sawulo bwe yakiwulira, n’akisanyukira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mikali muwala wa Sawulo n'ayagala Dawudi; ne babuulira Sawulo, ekigambo ekyo n'akisiima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ate Mikali muwala wa Sawulo n'ayagala Dawudi. Ne babuulira Sawulo, ekigambo ekyo n'akisiima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mikali muwala wa Sawulo n'ayagala Dawudi: ne babuulira Sawulo, ekigambo ekyo n'akisiima.