1 Samuel 18:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba muli munda nti: “Nzija kumumuwa, amufuukire omutego, Abafilisitiini balyoke bamuyigganye.” Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Leero ofunye omukisa omulundi ogwokubiri okufuuka mukoddomi wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’alowooza mu mutima gwe nti, “Nzija kumumuwa afuuke omutego, omukono gw’Abafirisuuti gulyoke gumuzikirize.” Sawulo kyeyava agamba Dawudi nti, “Kaakano ofunye omukisa ogwokubiri okuba mukoddomi wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'ayogera nti, “Naamumuwa amuwase abeere ekyambika gy'ali, n'omukono gw'Abafirisuuti gulwane naye.” Awo Sawulo n'agamba Dawudi omulundi ogwokubiri nti, “Ojja kuwasa muwala wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba nti: “Ka mmumuwe mmweyambise ng'omutego, Abafilistiya bamulwanyise.” Bw'atyo Sawulo n'agamba Dawudi omulundi ogwokubiri nti: “Ojja kuwasa muwala wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'ayogera nti Ndimumuwa abeere ekyambika gy'ali, n'omukono gw'Abafirisuuti gulwane naye. Sawulo kyeyava agamba Dawudi nti Leero onooba mukoddomi wange omulundi ogw'okubiri.