1 Samuel 18:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'alagira abaweereza be nti: “Mugambe Dawudi mu kyama nti: ‘Wuuno kabaka omusanyusa, n'abaweereza be bonna bakwagala; kale nno beera mukoddomi wa kabaka.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’alagira abaweereza be nti, “Mwogere ne Dawudi kyama mumugambe nti, ‘Laba, kabaka akusanyukira, ate n’abaweereza be bonna bakwagala, noolwekyo beera mukoddomi wa kabaka.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'alagira abaddu be nti, “Muteese ne Dawudi mu kyama mumugambe nti, ‘Kabaka akusanyukira n'abaddu be bonna bakwagala; kale nno kaakano wasa muwala wa kabaka.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo n'alagira abaweereza be nti: “Mwogere ne Dawudi mu kyama mumugambe nti: ‘Kabaka akusiima, n'abaweereza be bonna bakwagala. Kale kaakano ekiseera kituuse owase muwala wa kabaka.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'alagira abaddu be nti Muteese ne Dawudi mu kyama mwogere nti Laba, kabaka akusanyukira n'abaddu be bonna bakwagala: kale nno kaakano beera mukoddomi wa kabaka.