1 Samuel 18:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaweereza ba kabaka ne bagamba Dawudi ebigambo bino byonna. Dawudi n'agamba nti: “Mmwe mukiyita kitono okubeera mukoddomi wa kabaka? Nze ndi musajja mwavu, anyoomebwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo ebyo ne babitegeeza Dawudi. Naye Dawudi n’ayogera nti, “Mulowooza nga kintu kitono okubeera mukoddomi wa kabaka? Nze ndi musajja mwavu atamanyiddwa nnyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaddu ba Sawulo ne bagamba Dawudi ebigambo ebyo. Dawudi n'ababuuza nti, “Mukiyita kigambo kitono okuwasa muwala wa kabaka nze omusajja omwavu era anyoomebwa mu buntu?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abaweereza ba Sawulo ne bagamba Dawudi ebigambo ebyo. Dawudi n'ababuuza nti: “Mukiyita kintu kitono okuwasa muwala wa kabaka, naddala ku muntu nga nze omwavu era anyoomebwa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaddu ba Sawulo ne boogera ebigambo ebyo mu matu ga Dawudi. Dawudi n'ayogera nti Mukiyita kigambo kitono okuba mukoddomi wa kabaka, nze ani omusajja omwavu era gwe batayitamu ka buntu?