1 Samuel 18:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaweereza ba Sawulo ne bamunyumiza nti: “Dawudi agambye bino na bino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaweereza ba Sawulo ne bamutuusaako ebigambo bya Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaddu ba Sawulo ne bamubuulira nga boogera nti, “Bw'atyo, Dawudi bw'ayogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaweereza abo ne bategeeza Sawulo ebyo Dawudi by'agambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaddu ba Sawulo ne bamubuulira nga boogera nti Bw'atyo Dawudi bw'ayogedde.