1 Samuel 18:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba nti: “Dawudi mumugambe bwe muti nti: ‘Kabaka takusalidde mutwalo mulala, wabula obuliba kikumi obw'Abafilisitiini, owoolere bw'otyo eggwanga ku balabe ba kabaka.’ ” Sawulo yali asalira Dawudi lukwe attibwe Abafilisitiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’addamu nti, “Mugambe Dawudi nti, ‘Tewali kirala kabaka ky’ayagala okuggyako ebikuta by’Abafirisuuti kikumi okwesasuza ku balabe be, n’oluvannyuma onoowasa muwala we.’ ” Sawulo yali ayagala Dawudi attibwe Abafirisuuti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'abagamba nti, “Mugambe Dawudi nti, ‘Kabaka tayagala bya buko byonna, wabula ebikuta ebikomoddwa ku Abafirisuuti kikumi (100), olw'okuwalana eggwanga ku balabe ba kabaka.’ ” Sawulo yalowooza nga Abafirisuuti bajja kutta Dawudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba nti: “Mugambe Dawudi nti: ‘Kabaka tayagala bintu bya buko, wabula ensusu kikumi ezikomoleddwa ku Bafilistiya, olw'okuwoolera eggwanga ku balabe be abo.’ ” Sawulo yalowooza ng'Abafilistiya bajja kutta Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'ayogera nti Bwe mutyo bwe munaagamba Dawudi nti Kabaka tayagala bya buko byonna, wabula ebikuta by'Abafirisuuti kikumi, okuwalana eggwanga ku balabe ba kabaka. Era Sawulo yali alowooza okussa Dawudi omukono gw'Abafirisuuti.