1 Samuel 18:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaweereza be bwe baategeeza Dawudi Sawulo bye yali agambye, eky'okufuuka mukoddomi wa kabaka ne kimusanyusa. Ennaku zaali tezinnaba na kuggwaayo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaweereza be ne bagenda ne bategeeza Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n’asanyuka nnyo okuba mukoddomi wa kabaka. Awo ekiseera ekiragaane nga tekinnaba na kuyitawo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaddu be bwe baabuulira Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n'asiima nnyo okuwasa muwala wa kabaka. Awo ennaku nga tezinnaba kuyitawo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abaweereza ba Sawulo bwe baabuulira Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n'asiima nnyo eky'okuwasa muwala wa kabaka. Ennaku bwe zaali nga tezinnayitawo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaddu be bwe baabuulira Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n'asiima nnyo okuba mukoddomi wa kabaka. Awo ennaku nga tezinnaba kuyitawo;