1 Samuel 18:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'asituka n'abasajja b'ekibinja kye, n'atta Abafilisitiini ebikumi bibiri, n'aleeta obuliba bwabwe, n'abubalira kabaka, alyoke afuuke mukoddomi we; Sawulo n'amuwa muwala we Mikali abeere mukazi we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’abasajja be ne bagenda ne batta Abafirisuuti ebikumi bibiri. N’aleeta ebikuta byabwe, n’awaayo omuwendo ogutuukiridde eri kabaka, alyoke abeere mukoddomi wa kabaka. Awo Sawulo n’alyoka amuwa muwala we Mikali amuwase.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'asituka wamu n'abasajja be, n'agenda n'atta ku Bafirisuuti abasajja bibiri (200). Dawudi n'aleeta ebikuta byabwe byonna alyoke awase muwala wa kabaka. Awo Sawulo n'awa Dawudi muwalawe Mikali amuwase.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'asituka n'agenda ne basajja be, n'atta Abafilistiya ebikumi bibiri. Dawudi n'atwala ensusu ze yabakomolako n'aziwaayo zonna eri kabaka, n'azimubalira, alyoke awase muwala we. Awo Sawulo n'amuwa Mikali muwala we okumufumbirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agolokoka n'agenda, ye n'abasajja be, n'atta ku Bafirisuuti abasajja ebikumi bibiri; Dawudi n'aleeta ebikuta byabwe, n’abiwa kabaka omuwendo nga gutuukiiidde, alyoke abeere mukoddomi wa kabaka. Awo Sawulo n'amuwa Mikali muwala we okumufumbirwa.