1 Samuel 18:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagabe b'Abafilisitiini bajjanga okulwana, buli lwe baalumbanga, Dawudi ng'aba wa mukisa okusinga abaweereza ba Sawulo bonna; erinnya lye ne litutumuka nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaduumizi b’Abafirisuuti ne beeyongera okubatabaalanga, era buli lwe baabalumbanga, Dawudi n’awangulanga okusinga n’Abaserikale ba Sawulo abalala bonna. Erinnya lya Dawudi ne lyatiikirira nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaami b'Abafirisuuti ne balyoka batabaala; awo olwatuuka buli lwe baatabaalanga, Dawudi n'ayisanga n'amagezi n'asinga abaddu ba Sawulo bonna; erinnya lye ne lyatiikirira nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafuzi b'Abafilistiya baalumbanga, naye buli lwe baalumbanga, nga Dawudi akola bulungi okusinga abaweereza ba Sawulo abalala bonna, erinnya lye ne lyatiikirira nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaami b'Abafirisuuti ne balyoka batabaala: awo olwatuuka buli lwe baatabaalanga, Dawudi n'ayisanga n'amagezi n'asinga abaddu ba Sawulo bonna; erinnya lye ne lyatiikirira nnyo.