1 Samuel 18:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonatani n'ayambulamu omunagiro gwe n'aguwa Dawudi, n'ekkanzu ye, n'ekitala kye, n'omusaale gwe, n'omusipi gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yonasaani ne yeeyambulamu ekyambalo kye yali ayambadde n’ekanzu ye, ne yeesumulula n’ekitala kye, n’omutego gwe n’olukoba lwe, n’abiwa Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yonasaani ne yeeyambulamu omunagiro gwe, gwe yali ayambadde n'aguwa Dawudi, n'ekyambalo kye, era n'ekitala kye n'omutego gwe n'olukoba lwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yonataani ne yeeyambulamu omunagiro gwe, gwe yali ayambadde, n'aguwa Dawudi, n'amuwa n'ekyambalo kye eky'entalo, n'ekitala, n'omutego ogw'obusaale, era n'olukoba lwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yonasaani ne yeeyambulamu omunagiro gwe gwe yali ayambadde n'aguwa Dawudi, n'ekyambalo kye, era n'ekitala kye n'omutego gwe n'olukoba lwe.