1 Samuel 18:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi gye yagendanga mu byonna Sawulo bye yamutumanga, nga Dawudi abeera wa mukisa. Sawulo n'amufuula mugabe mu ggye. Kino ne kisanyusa abantu bonna, n'abakungu ba Sawulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kintu Sawulo kye yatumanga Dawudi, Dawudi n’akituukirizanga bulungi nnyo, era Sawulo kyeyava amuwa ekifo ekyawaggulu mu magye. Ekyo ne kisanyusa abantu bonna, n’abakungu ba Sawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agendanga buli Sawulo gye yamutumanga n'ayisa n'amagezi; Sawulo n'amufuula omukulu w'abasajja abalwanyi, abantu bonna ne bakisiima, era n'abaddu ba Sawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agendanga yonna Sawulo gye yamutumanga, n'akolanga na magezi, Sawulo n'amufuula omukulu w'abaserikale. Kino ne kisanyusa nnyo abaweereza ba Sawulo, n'abantu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agendanga buli Sawulo gye yamutumanga n'ayisa n'amagezi: Sawulo n'amufuula omukulu w'abasajja abalwanyi, abantu bonna ne bakisiima, era n'abaddu ba Sawulo.