1 Samuel 18:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abatabaazi lwe baakomawo, Dawudi ng'amaze okutta Omufilisitiini, abakazi ne bavaayo mu bibuga byonna ebya Yisirayeli okwaniriza kabaka Sawulo nga bayimba n'okuzina ku bugoma, ku nnyimba ez'essanyu ne ku ntongooli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja bwe baali nga bakomawo eka, Dawudi ng’amaze okutta Omufirisuuti, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Isirayiri nga bayimba era nga bazina, okusisinkana kabaka Sawulo, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga balina ebitaasa n’entongooli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasserikale bwe baali nga badda eka, nga Dawudi akomawo ng'amaze okutta Omufirisuuti, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Isiraeri okusisinkana kabaka Sawulo. Baali bayimba ennyimba ez'essanyu, nga bazina era nga bakuba ebitaasa n'ebivuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abaserikale bwe baali nga badda eka, nga Dawudi akomawo ng'amaze okutta Omufilistiya, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Yisirayeli okusisinkana Kabaka Sawulo. Baali bayimba ennyimba ez'essanyu, nga bazina era nga bakuba ensaasi n'ennanga ez'enkoba essatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka nga bajja, Dawudi bwe yakomawo ng'asse Omufirisuuti, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Isiraeri, nga bayimba era nga bazina, okusisinkana ne kabaka Sawulo, nga balina ebitaasa, nga basanyuka, nga bakutte ebivuga.