1 Samuel 18:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'asunguwala nnyo; ennyimba eyo n'etemusanyusa, n'agamba nti: “Dawudi bamuwadde bukumi, ate nze bampadde nkumi; esigadde ki, si kutwala bwakabaka?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo olwawulira ebigambo ebyo n’asunguwala nnyo, era ne kimukola bubi nnyo. N’ayogera nti, “Dawudi bamuwaanye n’emitwalo, nze ne bampaana n’enkumi; kiki ky’ataafune bw’ataalye bwakabaka?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'asunguwala nnyo ebigambo ebyo ne bimunyiiza; n'ayogera nti, “Dawudi bamuwadde obukumi, nze bampadde nkumi zokka; kati ekisigadde ki si kumufuula kabaka?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebigambo ebyo ne binyiiza Sawulo, n'asunguwala nnyo. N'agamba nti: “Dawudi bamubalidde mitwalo, naye nze nkumi zokka! Kale ekinaddirira si kumufuula kabaka?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'asunguwala nnyo ekigambo ekyo ne kimunyiiza; n'ayogera nti Dawudi bamuwadde obukumi, nange bampadde enkumi zokka: kale ayinza okweyongera okuba na ki wabula obwakabaka?