1 Samuel 19:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'abuulira Yonatani mutabani we n'abaweereza be bonna ku ky'okutta Dawudi; naye nno Yonatani mutabani wa Sawulo yali ayagala nnyo Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’agamba mutabani we Yonasaani, n’abaweereza be bonna, batte Dawudi. Naye Yonasaani yayagalanga nnyo Dawudi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'agamba Yonasaani mutabani we n'abaddu be bonna batte Dawudi. Naye Yonasaani mutabani wa Sawulo yayagalanga nnyo Dawudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo n'agamba Yonataani mutabani we n'abakungu be bonna batte Dawudi. Naye Yonataani mutabani wa Sawulo yali ayagala nnyo Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'agamba Yonasaani mutabani we n'abaddu be bonna batte Dawudi. Naye Yonasaani mutabani wa Sawulo yamusanyukira yo Dawudi.