1 Samuel 19:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'atuma abasajja ku nnyumba ya Dawudi bagikuume, bamutte ku makya. Naye Mikali mukazi we n'alabula Dawudi nti: “Bw'oteewonya kiro kino, enkya ojja kuttibwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’atuma ababaka bagende bakuume ennyumba ya Dawudi, bamutte enkeera. Naye Mikali mukyala wa Dawudi n’amulabula n’amugamba nti, “Bw’otodduke kiro kino, bwe bunaakya bajja kukutta.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'atuma ababaka mu nnyumba ya Dawudi bamuteege bamutte enkya; Mikali mukazi wa Dawudi n'amulabula nti, “Bw'otoowonye bulamu bwo kiro kino, ojja kuttibwa enkya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo n'atuma ababaka ku nnyumba ya Dawudi, okumuteega bamutte enkeera mu makya. Mikali mukazi wa Dawudi n'amulabula nti: “Bw'otodduke ekiro kino kuwonya bulamu bwo, enkya ojja kuttibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'atuma ababaka mu nnyumba ya Dawudi, okumukuuma, bamutte enkya: Mikali mukazi wa Dawudi n'amubuulira ng'ayogera nti Bw'otoowonye bulamu bwo ekiro kino, onottibwa enkya.