1 Samuel 19:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mikali n'addira ekifaananyi ekibajje ekya kalubaale k'awaka n'akigalamiza ku ndiri, n'akibikkako olugoye, ku mutwe gwakyo n'assaako akaliba k'embuzi akalina ebyoya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mikali n’addira ekifaananyi ekyole n’akiteeka ku kitanda, n’akibikkako olugoye, n’assa n’ebyoya eby’embuzi ku mutwe gwakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mikali n'addira terafi n'amuteeka mu kitanda, n'addira omutto ogw'ebyoya by'embuzi n'agussa emitwetwe, n'abikkako olugoye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mikali, n'akwata ekifaananyi kya lubaale ow'omu maka n'akigalamiza ku kitanda. N'ateeka emitwetwe waakyo omutto ogwakolebwa mu byoya by'embuzi, n'akibikkako olugoye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mikali n'addira terafi n'amuteeka mu kitanda, n'ateeka ekigugu eky'ebyoya by'embuzi emutwetwe, n'akibikkako embugo.